Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asitudde, ayolekedde America mu kibuga Boston okusisinkana abantu ba Kabaka abawangaalira mu America ne Canada mu lukuηaana lwa Buganda Bumu North American Convention, olutandika nga 23 May.
Bwabadde asitula okwolekera America, Katikkiro agambye nti waliwo enteekateeka eηeenderere egobererwa Obwakabaka okulambulanga ku bantu ba Kabaka abawangaalira ebunaayira okubamanyisa agafa embuga, okubakumaakuma n’okubaagazisa obuwangwa n’ennono zaabwe naddala ebika n’Olulimi Oluganda n’okuluyigiriza abaana.
“Omuntu bwatabeera waka, ayinza okukaluubirizibwa okutegeera obulungi ebifa awaka”.
Katikkiro agambye nti mu nsisinkano zino era babaamu n’okusisinkana abavubuka mu ngeri ey’enjawulo kubanga bangi balabibwa ng’abatamanyi bigenda mu maaso, kale ng’olwobutamanya kyekiviirako abamu okuwulikika ng’abavvoola songa bwebabuulirwa ekituufu bakitegeera mangu.
Obwakabaka bwatandika kaweefube ono ow’okusisinkana abantu ba Beene abawangaalira emitala wa Buganda oluvannyuma lwa Ssaabasajja okusiima n’atondayo amasaza n’agawa n’abaami.
Ensisinkano zino zizze zibeera mu bitundu by’ensi eby’enjawulo, okuli South Africa, Bungereza, America nga ne mu September w’omwaka guno yaakubeera mu mawanga ga Buwalabu.