Dr. Benon Ssekamatte alondeddwa nga ssentebe wa boodi ya BUCADEF omuggya azzemu bigere bya Isaac Lukenge.
Abalala abali ku boodi; Omumyukawe wa ssentebe ye Saulo Kaye ,ba memba abalala kuliko Kanso Erias Luyimbaazi Nalukoola, Edward Ssenkindu, Rosette Nabbumba omukugu mu byobulimi, Jenah Kirabo Nyende,ne Dr. Emma Naluyima Mugerwa.

Kamalabyonna wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga bw’abadde atongoza boodi empya, ebazizza emirimu egikolebwa ekitongole Kya Ssabasajja ekyebyobulimi ki BUCADEF, olwettoffaali gyekitadde ku nkulaakulana y’abantu ba Kabaka, naddala mu byobulimi.
Katikkiro agambye nti ekirime ky’Emmwaanyi ,amatooke , ebijanjaalo n’emmere byeyongedde ku butale obw’ensi yonna.
Katikkiro agambye nti Abalimi mu Buganda basobodde okuliikiriza ettaka eribadde likaddiye nga bakozesa ebijimusa n’amagezi agabaweereddwa BUCADEF.
Asabye boodi empya ekole ekisoboka okukuumira abantu ba Kabaka mu bugagga obw’Emmere, n’okufuna ensimbi eziyimirizaayo amaka gabwe n’okuweerera abaana.

Isaac Lukenge Ssentebe wa boodi ya BUCADEF Omuwummuze ,yebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll olw’omukisa ogwamaanyi gweyamuwa okukulembera ekitongolekye , n’enkolagana ennungi ebaddewo mu baweereza mu BUCADEF bonna, n’Okulambikibwa mu nzirukanya y’ekitongole naddala mu by’ensimbi.
Bisakiddwa: Kato Denis