Ssegirinnya Muhammad abadde omubaka wa Kawempe North mwana nzaalwa yoku kyalo Butale- Kaddugala mu district ye Masaka mu Buddu, era gyeyava naasenga e Kyebando mu Kampala mu gombolola ye Kawempe, n’atandika obulamu obujja.
Yazaalibwa mu 1988 mu maka ga kitaawe omugenzi Peter Ssemaganda ne Justine Nakajuumba.
Yafiiridde mu ddwaliro e Lubaga nga 09 January,2025 ku ssaawa mukaaga n’eddakiika 10 ezomuttuntu.
Ajjukirwa nnyo olw’Obuweerezaabwe eri abantu naddala abe Kyebando beyakimira nga Amazzi nebamuwa ensimbi, ezaamusobozesa’okukuba essimu ku Radio ne TV era neyekazaako erinnya lya ‘Eddoboozi ly’e Kyadondo.
Olw’ettutumu lyeyafuna yasalawo okuddayo okusoma, ayongere ku bitabo, oluvannyuma naayingira eby’obufuzi ku mutendera gwa Kansala mu gombololola ye Kawempe, era mu 2016 okutuuka mu 2021 yalondebwa okubeera omukiise ku lukiiko lwa KCCA mu Kampala.
Mu kalulu ka 2021 yalondebwa ku kifo ky’omubaka wa Parliament okukiikirira Kawempe North mu 2021, nga yafuna obululu emitwalo 41, 197 nga yawangula Sulaiman Kidandala.
Nga wakayiya emyezi mibale, yakwatibwa ne mubaka munne owa Makindye West Allan Ssewannyana, government nebaggulako emisango gy’okukulembera ekitta bantu ky’ebijambiya ekyabalukawo mu makati g’omwaka 2021 mu bitundu bye Buddu.
Ku alimanda baamalayo omwaka mulamba n’ekitundu (ennaku 500),oluvannyuma nebayimbulwa.
Ebbanga lyonna Sseggirinya lyeyamala mu kkomera embeera y’obulamu bwe yagenda esereba, era okuva olwo obulamu bwe obusinga abumaze mu malwaliro.
Ajjanjabiddwa mu malwaliro agawerako wano mu Uganda, Mu Aghakhan hospital e Nairobi Kenya,mu UMC Hospital mu Amsterdam e Netherlands n’awalala.
Ssegiriinya abadde mulwanyi alumirirwa abalala, era nga tannagenda mu parliament ya 11, ajjukirwa nnyo okuwakanya enteekateeka y’Okukyusa TV okuva mu nkola eyali eya Analogo okugenda mu Digital, bweyatikka TV ezaakazibwako zi kibuto ku Kigaali naazoolekeza ekitebe ky’Akakiiko k’Ebyempuliziganya ekya Uganda Communications Commission, kyokka police teyamuganya era awo weyava nafuuka ensonga.
Mu 2017 yateekateekateeka edduwa gyeyayita ey’omunnyo ng’avumirira ebbula ly’emirimu eryali liyitiridde mu ggwanga, bweyategeeza nti Uganda yali teyeetagiisa kukuza lunaku lwabakozi.
Waliwo era lweyekalakaasa n’akafaliso ke n’ayolekera parliament gyeyali asazeewo okusula, olw’abawala bannauganda abaali babonaabonera mu mawanga ga Buwalabu.
Yagula Ambulance 2 okuddusa abalwadde mu malwliro agenjawulo.
Yatandikawo eddwaliro erya Kawempe North hospital nga yakawangula akalulu mu 2021, wabula obuweereza bwalyo bwajjamu omukoosi nga bamusibye.
Abantu bajjanjabirwanga bwereere, so nga n’abakyala abaazaalirangayo yabaangako entanda gy’abasibirira.
Wafiiridde ng’eddwaliro lyaggalawo, ebizimbe nebifuuka kifo ekisulwamu abatambuze ( Guest House).
Ekifo kyeyali azimbye okulabirira abaana enfuuzi nebamulekwa Orphanage centre yakoma ku kukuzimba teyatandika kuweereza, oluvannyuma lw’okusibwa nga yakamaliriza okuzimba ebizimbe.
Ssegiriinya yategeeza nti mu nnaku 100 zeyali yakamala mu parliament ng’alondeddwa, yali amaze okutuukiriza manifesto ye.
Era nga sente obukadde 200 parliament zeyamuwa okugula emmotoka zeyakozesa okutuukiriza manifesto ye, naddala ng’akulaakulanya eddwaliro lyeyaziimbira abantu be Kawempe abaamulonda erya Kawempe North Hospital n’okulissaamu eddagala.
Mu ngeri yeemu Ssegiriinya oluvannyuma lw’okuyimbulwa mu kkomera, yategeeza nti yali yetegekedde bulungi okuweereza abantu be ng’agabana nabo ensimbi zeyali afuna mu parliament nti wabula embeera y’okusibwa mu kkomera ku musango gw’ebijambiya nti byeyali tamanyi, enteekateeka ze zonna neziziηama.
“Abasajja baankwata Jjeeke, nebannemesa okweyagalira mu parliament” -Ssegiriinya
Yaggulawo enkola ya ‘Segi box’, okuyamba abakyala okweterekera n’okwekulaakulanya ng’abagabira obubokisi.
Eby’emizannyo abadde abissaamu ensimbi naddala omuzannyo gw’omupiira, okukumaakuma abavubuka.
Ssegiriinya Muhammad abadde amanyiddwa ng’Eddoboozi ly’e Kyebando ne Mr.Update, era ng’abadde yasuubiza essaawa yonna abadde alina erinnya eddala lyabadde anaatera okwetuuma, era nga gonna agetuuma okusinziira ku mirimu n’obuweereza bw’abeera abakanye nabwo mu kiseera ekyo.
Wakuziikibwa ku Sunday nga 12 January,2025 ku kyalo Kaddugala ekisangibwa mu district ye Masaka mu Buddu.#