Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ekya Uganda National Bureau of Statistics, (UBOS), kyetondedde banna Uganda olw’enteekateeka y’okubala abantu efunye okutaataganyizibwa ku lunaku olusoose
Olunaku lwa leero olwa Friday nga 10 May,2024 lwe lunaku olutongole olw’okubalirako bannauganda, era government yalulangirira lubeere lwakuwummula mu ggwanga lyonna, okusobozesa abantu okusigala ewaka babalibwe.
Wabula guli gutyo abantu abasiinga obungi bakinze olunaku lwonna babalibwe, wabula.ababala tebalabiseeko.
Ayogerera olukiiko oluteekateeka okubala abantu olwa National Population and Housing Census 2024, Alfred Geresom Musamali, agambye nti bafunyemu okusoomozebwa mu byuuma byabwe, olw’abamu ku bakozi ababadde tebaayiga bulungi kukozesa byuma byabaweereddqa.
Musamali agamba nti n’enkola ey’ekitongole kyebibalo ekya Uganda National Bureau of Statistics, (UBOS), emanyiddwa nga Computer Aided Personal Interview (CAPI) ekiriza abakozi okukozesa obuuma obwa Tablet, okuteekamu ebikwata ku bantu, nti yafunyeemu okutaataganyizibwa wabula nekiterezebwa mu bwangu.
Wabula mu bitundu ebimu, ababala abantu nga mu Kawempe, wadde nga babadde n’ebyuma eby’okukozesa, naye ate tebabadde na biboogerako ng’abakozi mu mulimu guno ogwa Census ekibatiisizza okugenda mu maka g’abantu okutandika okubabala nga batya nti babadde bayinza okufunirayo ebizibu.

Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa nga kiteereddwako omukono gwa ssenkulu wa UBOS, Chris Mukiza, kiraze nti ku bakozi emitwalo 94,099 abaawebwa omulimu gw’okubala abantu, kubaddeko abakozi emitwalo 20, ababadde tebamanyi bulungi kukozesa byuma ebyo, era nga bano baawerezebwa okuva mu government ez’ebitundu, nga banabwe baatandika dda okuteendekebwa.
Mukiza agambye nti okutwaliza awamu, enteekateeka ekyatambudde bulungi, ng’obumulumulu obubaddemu busuubirwa okutereezebwa mu nnaku ezisigaddeyo.
Okubala abantu kwakumala ennaku 10, kutandise nga 10 May, okutuuka nga 19 May,2024 bannauganda bonna lwebasuubirwa okuba nga bonna babaliddwa.#