Abavujjirizi b’Obwakabaka bwa Buganda abenjawulo abatakabanira enkulaakulana beeyamye okwongera okunyweza Obwa sseruganda ne government ya Beene, nga bawagira emirimu egikolebwa okuzza Buganda ku Ntikko.
Obuganda bwetegekera okujjukira bwegiweze emyaka 31 bukyanga atuula ku Nnamulondo mu 1993, Obukulembezeebwe bufunye abavujjirizi mu bisaawe okuli eky’ebyemizannyo, Ebyobulamu, ebyenfuna n’ebirala, ebikulaakulanyizza abantube.
Ssaabasajja Kabaka ng’ayita mu kitongole kye ekitakabanira Obulamu Obulungi ekya Kabaka Foundation, kikolaganye n’Ekitongole ekidduukirize ki Uganda Red Cross society mu mulimu gw’Okunoonya Omusaayi n’Okudduukirira abantu.
Emirimu gino gyaweesa Ssaabasajja engule y’ensi yonna eya International Red Cross ey’omwaka 2023.
Avunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu Uganda Red Cross society Irene Nakasiita , ategeezezza nti mu nkolagana ennungi n’Obwakabaka basobodde okutuusa Omusaayi ogwetaagisa mu malwaliro gonna, nebataasa abakyaala ,abaana wamu n’Abantu ababa bagudde ku bubenje.
Nakasiita annyonnyodde nti oluvannyuma lw’Okukakasa nti Obwakabaka bwankizo eri ekisaawe ky’Ebyobulamu, baakutandikawo enkolagana n’Obukulembeze obulala obw’ennono mu Uganda, balabe ng’obungi bw’Omusaayi mu malwaliro bweyongera abantu bawone okufa olw’ebbula lyagwo.
Mu kisaawe ky’ebyemizannyo Airtel Uganda nga yemuvujjirizi omukulu ow’Emipiira gy’Amasaza kko n’Ebika omukulu.
Enkolagana n’Obwakabaka esobozesezza Abavubuka okufuna ensimbi nga bayita mu kwolesa ebitone, era nga bangi ku bazannyi mu mpaka z’Amasaza bafunye omukisa okucangira omupiira mu tiimu y’eggwanga wamu ne club ez’amaanyi.
Ali Balunywa omukungu mu Airtel Uganda agambye nti beenyumiriza mu Nkolagana n’Obwakabaka kuba ebawadde omukisa okututumuka, era neyeebaza Ssaabasajja olw’Okusiima empaka zino nezibaawo.
Bannamikago abalala abakolaganye n’Obwakabaka mu myaaka 31 nga Empologoma eri ku Nnamulondo,kuliko Centenary Bank ababangudde abantu ba Kabaka mu by’enfuna, I&M Bank , DFCU bank, nabalala.
Mu byobulamu aba UNAIDS ,ministry y’ebyobulamu, n’Amalwaliro ag’obwananyini nabo babadde basaale mu kulwanyisa mukenenya.
Okujjukira amatikkira g’Empologoma kwakubaawo nga 31.7.2024 mu Lutikko e Namirembe.
Wakubaawo okusaba okw’Okweebaza Omutonzi olw’ebibala byawadde Nyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu masinzizo agenjawulo mu Buganda n’ebweru wa Buganda.
Okujjukira amatikkira g’Empologoma kwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti Obumu bwaffe gemaanyi ga Namulondo.
Bikungaanyiziddwa: Kato Denis