Bannabibiina bya CBS PEWOSA SACCO okubadde Busiro Sacco ne Kyadondo Sacco bakiise embuga mu nkola eya Luwalo Lwange.
Baleese oluwalo lwa bukadde bwa shs 18 mu n’emitwalo ataano.
Busiro CBS PEWOSA SACCO baleese obukadde 12 mu emitwalo 10, bakulembeddwamu Ssentebbe wabwe Joseph Magala.
Kyadondo CBS PEWOSA baleese obukadde 6 mu emitwalo 40, bakulembeddwamu amyuka ssentebe wabwe James Kayongo .
Oluwalo luno lubatikuddwa minister w’amawulire, Kabineti, Olukiiko era Omwogezi wa Buganda Owek Noah Kiyimba akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Abasabye okwongera okukunga bannaabwe okwetannira enkola ey’obwegassi okwekulaakulanya.#