Bajjaja abataka abakulu ab’obusolya nga bakulembeddwamu Omukubiriza w’olukiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, beyanzizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okusiima nayogerako eri Obuganda, oluvannyuma lw’ebbanga eriwerako ng’ali mu luwummula mu ggwanga lye Namibia ku biragiro by’abasawo
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka ng’ayita ku mutimbagano yayogeddeko eri Obuganda ng’ayita ku mikutu gy’Obwakabaka okuli CBS radio ne BBS terefayina, n’agumya abantu be nti agenze afunawo enjawulo okuba abasawo lwebaamulagira okuwummulako nga bwebongerako okumujjanjaba.
Yasabye abantu be okubeera obumu n’okwewala okuva ku mulamwa ogw’okukulaakulanya Obwakabaka.
Yabawadde esuubi oluvannyuma lw’okuteereeramu, mu kadde akatali kewala wakudda munsi ye.
Mungeri yemu abataka ab’obusolya basabye Obuganda ne Uganda yonna okutwalira awamu, okukomya okuvvoola abantu Ssabasajja Kabaka beyalonda okubeerako emirimu egyenjawulo gyebakola .#