Omuvubuka atanategerekeka mannya attiddwa nomulambo nebaguteekera omuliro, kigambibwa abadde agezaako okubba Ppikipiki mu parking e Bugembe mu Jinja City.
Bino bibaddewo ku ssaawa kkumi nga bukya, era ababadde bakeedde okugenda ku mirimu gyabwe basanze omulambo gubengeya.
Police okuva e Jinja wetukidde nga tekyalina kyetaasa, era omulambo eguggyewo nga gufuuse kisiriiza.
Sentebe we kyalo kino Kirigwa Ben avumiridde eky’a batuuze abatwalidde amateeka mungalo.
Police eggyewo omulambo negutwala mu ggwanika ly’eddwaliro e Jinja.
Bisakiddwa: KirabiraFred