Police e Mubende etandise okunoonyereza ku nfa y’abantu 6 abakubiddwa amasannyalaze e Butawaata mu gombolola ye Kigando mu district ye Mubende bwebabadde bazimba weema y’embaga.
Omukaaga abafudde ye; Asaba Godwin Biddewa Male wa myaka 40, Byamukama Boaz wa myaka 51, Ayebazibwa Jordan wa myaka 22, Walusimbi George wa myaka 19, Kakuru Ambrose wa myaka 30 ne Kyozzo Nasasira Innocent wa myaka 32.
Omwogezi wa police mu bbendobende ly’e Wamala Rechael Kawala agambye nti baggudde omusango gw’obulagajjavu ku “mugole omusajja” Nelson Otamugaya eyapangisizza abantu bano okumuzimbira weema.
Embaga ya Nelson ebadde erina kubaawo leero nga 06 June,2024 mu kibangirizi ky’akatale e Butawaata mu ggombolola y’e Kigando mu district y’e Mubende, wabula amasannyalaze agasse abantu 6 nayo gagiviiriddeko okuyimirizibwa.
Kigambibwa nti abafudde babadde bakola nga basitula ebyuma bya weema, ebyuma byayo nebiroba mu waya z’amasannyalaze negabakuba.
Kitegeerekese nti line y’amasannyalaze agasse bano ya 3 phase.
Kawala agambye nti abakugu okuva mu kitongole ekibunyisa amasannyalaze baatuuse mangu mu kitundu okutaasa embeera obutabaako balala bafiiramu.
Emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mubende okukolwako alipoota!
Wabula newankubadde “omugole omusajja” agguddwako omusango gw’obulagajjavu, naye yaddusiddwa mu ddwaliro okufuna obujjanjabi oluvannyuma lw’okuzirika olw’ekikangabwa.
Kawala agambye nti ekyewuunyisa police y’ekitundu nti yabadde tetegeezeddwa ku mbaga eno ebadde egenda okukolerwa mu katale.
Afande Recheal Kawala era ategeezezza nti baliko nebyobongedde okuzuula nti bangi ku batuuze mu kitundu ekyo babbirira amasannyalaze.