Police mu district ye Kasese ne Bunyangabo etandise okunoonyereza ekituufu ekiviiriddeko mmotoka etambuza abalwadde okukwata omuliro, abantu babiri nebafiirawo mbulaga.
Ambulance yéddwaliro lya Bwera General Hospital e Kasese ekutte omuliro ku kyalo Yerya, ekisangibwa mu gombolola ye Kibiito mu district ye Bunyangabu,ebadde etwala balwadde mu ddwaliro lye Mulago mu Kampala.
Omwogezi wa ministry y’eby’obulamu Emmanuel Ainebyona ategezezza nti abantu abasatu abafudde kubaddeko omulwadde abadde atwalibwa mu ddwaliro, omujanjabi we n’omusawo amubaddeko.
Abalala ababiri basimattuse n’ebisago eby’amaanyi kuliko driver n’omujanjabi omulala abadde atudde mu maaso.
Ainebyona agambye nti kitegerekeae nti omuliro gutandikidde mu kitundu kya ambulance ewassibwa abalwadde.
Otim Loro akolera ku police ye Kasese annyonnyodde CBS nti batandise okunoonyereza ekivuddeko akabenje.