Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde olukiiko olugenda okuteekateeka emikolo gy’okujjukira Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II og’omulundi ogwa 31, gakubaawo nga nga 31 July 2024.
Olukiiko lukulemberwa Owek. Dr. Anthony Wamala Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda, amyukibwa Owek. Israel Kazibwe Kitooke Minisita w’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka.
Ba Memba abalala Kuliko Owekitiibwa Noah Kiyimba Minister wa Cabinet na Abagenyi, Minister wa Gavumenti ez’ebitundu Owekitiibwa Joseph Kawuki, Omukungu Josephine Nantege Ssemanda omuwandiisi ku Lukiiko luno, Kaggo Ssaalongo Hajji Ahamed Magandaazi Matovu , Joseph Mugaga, Omukungu David Ntege ne Captain Cristopher Lutwama.
Bwabadde atongoza olukiiko luno mu Bulange e Mengo, omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo, agambye nti wadde nga Ssaabasajja mukosefumu, waliwo bingi ebituukiddwako mu myaka gino okuva lweyazza Engoma, era Obwakabaka bulina okujaguza n’okwenyumiririza mu mirimu gye.
Agambye nti Amatikkira g’omulundi guno, gaakutambulira ku mulamwa, “Obumu bwaffe, ge maanyi ga Nnamulondo”
Agambye nti ne ku mulundi guno, amatikkira ag’omulundi guno gajja kubeeramu okusabira Ssaabasajja Kabaka mu masinzizo ag’enjawulo, ng’okusaba okw’okuntikko kwakubeerawo nga 31 July,2024 mu Lutikko e Namirembe.