Abébyokwerinda okuli amagye ne Police basiibye bayigga omusajja abadde alabika okuba omulalu asangiddwa n’emmundu 2, mu kitundu ekye Kasambya-Kalegero mu ggombolola y’e Malongo mu District ye Lwengo.
Omusajja ono atategerekese bimukwatako kigambibwa nti ku lunaku lw’okusatu lwa wiiki eno yali ayita mu kitundu ekye Kalegero, abantu kwekumulaba ng’aliko engugu gyeyetisse, kwekuyita Pasita w’Omukitundu kino amanyiddwa nga Pasita Maka eyegulidde erinnya mu kusabira abalulu nti n’ebawona.
Kigambibwa nti Pasita ono yayimiriza omusajja ono era namuwooyawooya akkirize amusabire ,bwatyo naye nabawuliriza era bwebamutuusa mu kifo mwasabira abantu e Kalegero ku bizimbe bya Master MS, omugugu agambibwa okuba omulalu gweyali yetisse n’ebagumuggyako n’ebaguteeka ebbali olwo n’ebamunaaza n’okumusabira n’ekutandika.
Olwaleero Pasita nabamu ku bamuyambako bawaliriziddwa okulaba omusajja ono ebintu byeyali yetisse era bagenze okubisumulula nga mulimu emmundu biri ekika ekya AK47 kwekutemya kubobuyinza ne Police.
Police egende okutuukawo ng’omusajja yadduse dda naayingira ekibira kya Kalitunsi abadde okumpi.
Ssentebe w’ekitundu kino Jane Francis Katende asabye abantu buli omu okuba mbega wamunne ate n’okulaba ng’enkola eyamayumba kkumi ekomawo, n’asaba ne police gyebaggya mu kitundu ekomezebwewo.
Amyuka Omubaka wa President e Lwengo Charles Lwanga agambye nti emmundu zombi bazifunye, neyeebaza abantu olw’okufaayo kubyokwerinda byabwe, nagamba nti ennaku zino kati abamenyi b’amateeka bakozesa nnyo abantu abalalu, nagamba nti omuyiggo kwono gukyagenda mu maaso.
Abyebyokwerinda Pasita Maka naye bamukutte okubaako byabanyonyola.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito