Ab’oluganda lw’omugenzi Joseph Tamale Mirundi betondedde Ssaabasajja Kabaka n’Obwakabaka bwa Buganda bwonna, olw’ebikikinike muganda wabwe byeyayogeranga ebivvoola Buganda n’abakungu baayo mu kiseera weyayatiikirira ennyo ku Radio ez’enjawulo n’emitimbagano.
Basisinkanye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo nga bazze okwetonda, bakulembeddwamu omukulu w’ennyumba ya Yowana Mirundi omwami John Ssembuya Ssali.
Ku lw’ennyumba ya Yowana Mirundi, John Ssembuya Ssali mu butongole yeetondedde Ssaabasajja Kabaka, Olulyo Olulangira, Katikkiro n’Obuganda bwonna olw’amuto we okweyisa mu ngeri eyatyoboola enju, n’aboluganda bennyini nti embeera eno nebamalako emirembe.
Katikkiro Charles Peter Mayiga abaanukudde era okwetonda kwabwe naakukkiriza . ” Ku lw’Obwakabaka bwa Buganda ne ku lwange okwetonda kuno tukukkiriza, anti okwetonda kikolwa kya buntubulamu”
“Bwennafuna ebbaluwa yo, Ssaabasajja nnemutegeeza kubanga ebyasooka byali byogerwa bwogerwa, era Ssaabasajja yanziramu bwati nti “basisinkane owulirize kyebagamba, kubanga okwetonda kikolwa kya buntubulamu….”
Katikkiro Charles Peter Mayiga awabudde abakozesa omutimbagano okwegendereza byebaguteekako kubanga ggwo tegwerabira, nga kale guyinza okusubya bangi ebirungi, n’asaba abagukozesa okufaayo bagukozese ebyo byokka ebibayamba okuzimba obulamu bwabwe n’ebikuza ensi.
Katikkiro agambye nti Tamale Mirundi yaweererezaako ku Radio ya Kabaka CBS era gyeyafunira ettutumu ne government n’emulengera n’emuwa omulimu wabula ate n’akyukira Obuganda, wabula nebutamwanukula.
Katikkiro era ayanukudde ku nsonga eyalemesa Obuganda okunyega akantu konna Tamale Mirundi bweyafa, bwategeezezza nti ng’Obuganda bwali tebumanyi waakutandikira, era nga baali tebamanyi na muntu omutuufu eyali owookuwa obubaka obwo oluvannyuma lw’ebyo byonna ebyali bikulembedde.
Ab’enju ya Tamale Mirundi beeyanzizza Ssaabasajja okusiima n’akkiriza okwetonda kwabwe era baguze ne Certificate okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.
Bategeezezza nti bantu ba Kabaka abawulize era baweza okugenda mu maaso nga bawagira emirimu gya Buganda n’enteekateeka zonna naddala okugoberera ensonga Ssemasonga ettaano Obuganda kwebutambulira.
Mu bazze abalala kuliko Nnamwandu Nnassimbwa Juliet Nantege Tamale era akulira abakyala mu ggombolola Ssaabagabo Lufuka, ba mulekwa John Tamale Mirundi, Nantongo Teddy, Namuli Jane Mary ne jjajaabwe ow’olunyiriri lwa Lukwago mwebasibuka.
Bakulembeddwamu omwami wa Kabaka ow’eggombololola Ssaabagabo Lufuka omwami Matia Kayinja, gwebaatuukira nebamusaba abatembeete ku nsonga eno.
Kinnajjukirwa nti bwebaali mu Eklezia e Bunnamwaya, omukulu John Ssali yasuubiza okukiika embuga asisinkane Katikkiro yeetonde olw’ebigambo bya Mirundi, era nga tewaali mukungu yenna yakiikirira Buganda mu kukungubagira n’okusabira omuntu wabwe.
Tamale Mirundi yafa nga 13 August,2024 era n’aziikibwa e Kalagala Kaliisizo mu district y’e Kyotera.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.