Obuganda ne bazzukulu ba Luwonko abeddira Ekiwere banjuliddwa Omukulu w’ekika kyabwe Omubbulukuse Omutaka Alexander Basajjabaka Sserwadda azze mu bigere by’omubuze era kitaawe Omutaka James Mbaalezamuwanga.
Omutaka James Mbaalezamuwanga yasinzittuka nga 12 September,2024 oluvannyuma lw’okulwalira akabanga.
Omukolo gw’okulaga Omutaka omuggya ow’akasolya k’ekika ky’Ekiwere guyindidde mu Bulange e Mmengo nga gukulembeddwamu Katikkiro w’ekika ekyo era naye omuggya Kyazze Apollo Mbaale.
Katikkiro w’omutaka Luwonko mu ngeri yeemu ayanjudde ne Lubuga Nabiddo Patricia.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayanirizza Omutaka Luwonko Alexander Basajjabaka n’amwagaliza obukulembeze obulungi n’amusibirira entanda ey’obutaseeseetukanga ku Ssaabataka, era nti omulimu gwe omukulu kukumaakuma bazzukulu ng’aboolekeza byokka Ssaabataka byalagira.
Awabudde ab’eddira ekiwere okubaga ku nteekateeka y’okuwandiika ebyafaayo by’ekika kyabwe bigattibwe mu kitabo Ssematabo eky’Obwakabaka ekiraga ebyafaayo by’ebika byonna mu Buganda ekikolwako minisitule y’Obuwangwa n’ennono.
Kitegeerekese nti ekirwisizzaawo okufuna omutaka Omubbulukuse mu kika ky’ekiwere wabaddewo emigozoobano mu kutegeera omutuba omutuufu omuva omukulu w’ekika.
Wabula minister w’Obuwanga n’ennono Owek Dr. Anthony Wamala mu bubaka bwatisse Owek. Cotilda Nakate Kikomeko agambye nti ng’abakolagana ne bakatikkiro abaaweebwa omulimu gw’okuteekateeka okufuna omutaka omuggya, bagoberedde bulungi ennono era bakakasizza nti bafunye omutaka omutuufu atalidde nsowole.
Ebyafaayo biraga nti ekika ky’Ekiwere kyatandikawo mu mwaka gwa 485!
Ekika ky’Ekiwere kirina obuvunaanyizibwa mu lubiri okuli; Okukuba Engoma ekunga Obuganda okubugiriza Ssaabasajja wonna w’asiimira okulabikako eri Obuganda, Balaguzi ba Kabaka, era abavunaanyizibwa kukuyiggira Kabaka ensolo yonna gyasiima okumutwalirwa nga nnamu!
Katikkiro Apollo Mbaale mu butongole era ayanjudde enteekateeka z’okutereka Omubuze ku butaka e Kasiiniina mu Ssingo ku Lwokusatu nga 25 September,2024.
Ku Tuesday nga 24 September,2024, omutaka omubuze wakusabirwa n’okujjukirwa mu ngeri ey’enjawulo mu Kkanisa ya St. Gideon e Kigombya Mukono gy’abadde akungaanira.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.