Government ebaze ebbago ly’etteeka mwegenda okuyita okutereka ebintu byonna ebikwata ku ndaga luse z’abazzi b’emisango nga lino egenda kulituuma the National Forensic DNA Database.
Etterekero lino lyakubeera mu kitongole ekyekebejja ebizibiti n’endaga luse, ki directorate of Government Analytical Laboratory.
Government okutandikawo etterekero lino eyagala kuyita mu bbago ly’etteeka lyetuumye the Forensic Evidence Bill 2024 , lyeyanjudde mu parliament.
Mu tterekero lino, government eyagala okuteekamu kalonda akwata ku ndaga luse z’abantu abazze benyigira mu misango, okuli obumenyi bw’amateeka,obubenje,omuliro n’ebirala.
Etteeka lino era ligenda kulungamya okukola, okutunda ,okutereka n’okutambuza ebiragalalagala (chemicals) ezobulabe naddala ez’obutwa , acid n’ebirala.
Ebizibiti ebikozesebwa ng’obujjulizi mu mbuga z’amateeka n’okuzuula endaga luse government ezekebejjeza mu laboratory eyo , wabula wabaddewo omuwaatwa mu mateeka agalungamya enkola yemirimu mu kwekebejja ebizibiti, entereka yaabyo, engeri gyebivaayo, n’ensonga endala nga gavument kwesinzidde okubaga ebbago lyetteeka lino nga eyita mu ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga.
Okusinziira ku bbago lino, teri kkolera oba omuntu yenna agenda kukkirizibwa okukola, okutereka, okutunda, okusuubuza, yadde okutambuza chemicals ezobulabe nga talina liyisinsi.
Laboratory ya government eya Analytical Laboratory esangibwa mu bitundu bye Wandegeya yegenda okulungamya laboratory zonna mu ggwanga ezivunaanyizibwa ku nsonga eno.
Akakiiko ka parliament akalondoola ensonga zomunda mu ggwanga n’ebyokwerinda ,kekalindiriddwa okutandika okweneneenya ebbago lino eriwomeddwamu omutwe minister wensonga zomunda mu ggwanga Maj Gen Severino Kahinda Otafire.#










