Omuyizi w’essomero omu afiiridde mu kabenje ka mmotoka ate abasoba mwa 20 basigaddde n’ebisago eby’amaanyi, mmotoka bwebabadde batambulira eremeredde omugoba waayo neegwa.
Akabenje Kano kabadde ku luguudo olwa Kyeizimbate oluva e Kamubiizi- Kitagate, mmotoka namba UBQ 691Q kika Kya Mistubish canter ebadde esaabaza abayizi b’essomero lya Ntungamo SS bwegaanye okusiba neyerindiggula ekigwo.
Kigambibwa nti ddereeva abadde mu mmotoka eno bwategedde nti egaanye okusiba n]agibuukamu , olwo yo nesigala ng’eserengeta yokka, okutuusa lwegudde omwana omu n’afiirawo.
Omwogezi wa police ye bidduka mu ggwanga Michael Kananura agambye nti abayizi bano babadde bagenda kumpaka z’omupiira ku ssomero lya Kyezimbire SS mu district ye Isingiro.