eabOmulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road mu Kampala Ronald Kayizzi asindise ku alimanda abavubuka 7 abaalabikira mu katambi nga bakuba ensambaggere omusajja Tomsom Bainomugisha nebamunyagulula n’ebintu bye ku Ben Kiwanuka Street mu Kampala.
Bino byonna byaliwo ku ssaawa bbiri ez’ekiro ng’ennaku z’omwezi 22 May,2024.
Omusanvu police beyakakwata abaalabikira mu katambi ka camera kuliko; Sharif Tagaba eyeeyita Musoga, Nuru Rweyomam eyeeyita MV TZ, Eric Mukisa eyeeyita Musota, Muhammed Kabuye eyeeyita Abiriga, Peter Ssennyonjo eyeeyita Kakima, Victor Alinda ne Joram Kabiito.
Bano bagwiira Tomsom Bainomugisha ng’atambula nebamukuba emigere, nebamubbako ensimbi emitwalo 450,000 n’ebintu bye ebiralaebibalirirwamu ensimbi obukadde 2.
Bagguddwako omusango gw’obwakkondo, era omulamuzi tabakkirizza kubaako kyeboogera kubanga omusango gwabwe gwa nnaggomola oguwulirwa kkooti enkulu yokka.
Abasindise ku alimanda okutuusa nga 18 June,2024 lwebalikomezebwawo mu kkooti okumanya okunoonyereza ku musango gwabwe wekutuuse.