Omukulembeze w’ eggwanga Gen.Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa asuumusizza abasirikale ba police 5 amaddaala, okugenda ku ddaala lya Assistant Inspect General of Police.
Eddala erisinga obunene lya IGP nga yabeera sabapolice wa Uganda ,era ebiseera ebisinga obungi ba AIGP bebatera okulondebwamu Ssaabapolice.
Abasuumusiddwa ye AIGP Apola James akulira eby’okuzimba, AIGP Nuwabine Lawrence akulira police y’ebidduka mu ggwanga, AIGP Stephen Tanui akulira police ezikiriza omuliro era ng’ono yaliko omuduumizi wa police mu Kampala n’emiriraano,AIGP Obana Joseph Director wa police ya Interpol saako AIGP Musana John omumyuka wa senkulu wa police evunanyizibwa ku byokuzimba.
Abakuziddwa abasinga babadde ku madaala g’obwa commissioner mu police.
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusooke Kituuma asinzidde mu lukungaana lwa banamawulire ku kitebe kya police e Naguru nagamba nti okulondebwa kwabwe kwakwongera okutambuza emirimu gya police obulungi.#