Abantu 4 bafiiriddewo mbulaga n’abalala 9 bapooca, mu kabenje akagudde ku kyalo Nswanjere ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana.
Emmotoka ya taxi mwebabadde basaabalira etomedde Fuso eyafiiridde ku kkubo ng’etisse amatooke.
Emmotoka ya taxi number UBP 465 Q eteeberezebwa okuba ng’ebadde eva Mubende ng’edda Kampala, etomedde Fuso No.UAB 053 X ejivudde mabega.
Aberabiddeko ng’akabenje kagwawo bagamba nti taxi ebadde eyisinganya n’emmotoka y’essomero lya Ganyana Junior school e Jjeza Muduuma No.UAX 645 N ebadde etwala abayizi ku ssomero, kwekwekanga Fuso ebadde yafiiridde ku kkubo negitomera.
Emmotoka y’essomero nayo egikuubuddeko neyonooneka wabula abayizi tewali afunye bisago.
Ssentebe w’eggombolola ye Muduuma Mpigi era nga Mutuuze mu kitundu ekyo nga ye Kakembo Musa agambye nti bakolera wamu ne police baggyeyo omukyala 1 n’abasajja 3 abafiiridde mu kabenje.#