Abantu 2 bakakasiddwanti bafiiriddewo mu kabenje akagudde e Nsangi, ate owokusatu afiiridde mu ddwaliro gy’abadde addusiddwa.
Akabenje Kano kabadde okulirana essomero Lya London College nga wakava e Nsangi ku police.
Emirambo police egitutte mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Aberabiddeko ng’akabenje kagwawo bagamba nti abafudde babadde batambulira ku boda nga bava mu bitundu bye Maya nga badda Kampala, emmotoka kika kya Drone ebasabadde, ebadde egoberera president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ng’agenda e Masaka okunoonyeza ekibiina kye obuwagizi.
DPC wa Police ye Nsangi Kyabeni Rogers ategezezza nti emnotoka Toyota Hiace No. UBQ 691Q zitomereganye ne Toyota Noah No. UAT 157A, nezizingiramu bodaboda No. UFY 983T, UGC 381C, UEJ 361D ne UFY 465Y, ezibaddeko abasatu abafudde.#