Abanoonyereza okuva mu bbanguliro ly’ebyamateeka ku Makerere University, abanoonyereza ku ddembe ly’obuntu aba Human Rights and Peace Centre , saako abanoonyereza okuva mu University of Copenhagen mu centre for Resolution of International Conflicts batongozza alipoota ekwata ku nkola ey’okuyiwa amagye mu bitongole bya government ya Ugnada ebyenjawulo, engeri gyekosezaamu obuweereza eri abantu ba bulijjo n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu.
Alipoota bagituumye “Guns Bread and Butter Militarisation of Economic Sectors and Public institutions in Uganda”.
Mu alipoota eno, balaga akatyabaga Uganda keyoolekedde,naddala ak’okunafuya obuweereza obulina okuweebwa bannansi, amagye negabeera nga gegasalawo ku buli kimu, ekyolekedde okunafuya ebitongole bya government ebyenjawulo.
Alipoota eraze nti ebitongole bingi tebikyakola nga bwebiteekeddwa kukola mu mateeka, wabula abajaasi ababiweererezaamu byebasalawo byebikola, ekirinnyirira eddembe ly’abantu ery’okuweerezebwa nga bwebasaanidde.
Dr. Zahara Nampewo, Dr. Sylvia Namwase ne Prof Kabumba Businje abamu ku baakulembeddemu okunoonyereza kuno, bagambye nti bannamagye okumaamira ebitongole okuli; eby’ettaka, eby’obulimi, eby’obuvubi, ebibira, n’ebirala kirese bannansi bangi mu kunyigirizibwa okutagambika.
Abanoonyereza bano okusinga amakanda baagasiimba mu bitundu by’e Kasese, Karamoja n’awalala, okuva mu 2019 okutuuka 2022, nebakizuula nti amagye n’okukozesa emmundu mu bitongole kyenkana byonna, nti kikonzibya enkola y’emirimu n’okukosa enkulaakulana y’eggwanga.
Alipoota era eraze nti abagwiira nabo bamaamidde eby’enfuna by’eggwanga lino, era nga baweebwa enkizo mu mirimu mingi egyandikoleddwa bannansi.
Enkola endala gyebagamba ezingamizza enkulaakulna y’eggwanga, kwekuba ng’obuweereza obwenjawulo bwonna obwandituusiddwa ku bantu ba bulijjo butambulizibwa ku bukwakkulizo bw’eby’obufuzi.
Abanoonyereza bano baagala Parliament eddemu okukola omulimu gwayo nga yeetengeredde eyise etteeka erirambika emirimu gy’ebyenkulaakulana egirina okukolebwa amagye, okuzaawo enkola y’emirimu entuufu mu bitongole bya government nti olwo Uganda ejja kudda ku luguudo.
Alipoota egamba nti abakozi mu bitongole ebyenjawulo bebalina okusomesebwa okufuna obukugu obwetaagisa okukola emirimu egitali gimu, mu kifo ky’okugisaamu amagye, nebawa eky’okulabirako eky’enteekateeka ya NAADS, gyebagambye nti bweba yakugasa omuntu wa bulijjo, erina okuzzibwayo ku mulamwa kweyatandikira.
Wetukoledde eggulire lino, amyuka omwogezi w’amagye Deo Akiiki bwetumutuukkiridde okubaako kyayogera ku alipoota eno, agambye nti akyalina okusooka okugyekenneenya agitegeere bulungi.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen