Abaami ba Kabaka abemiruka mu gombolola ya Ssaabaddu Kituntu mu ssaza Mawokota mu district ye Mpigi babanguddwa, ku bikwata ku nkola za CBS PEWOSA ez’ebyenkulakana n’okuzuukusa obulimi bwa Pamba mu bungi.
Mu nteekateeka eno abaami ba Kabaka bakuyambako okukubiriza abantu okwettanira ebibiina bya Pewosa, mwebagenda okuyita okulima ppamba n’entegeka endala ez’enkulakulana.
Omusomo guno gubadde ku kitebe kye Ssaza Mawokota, Ssentebe w’akakiiko ka CBS akavunaanyizibwa kunkulakulana y’abantu ba Kabaka Owek. Kaddu Kiberu gy’asinzidde n’asoomooza abantu ba Kabaka abakyagaanye okukolera awamu n’ebanaabwe nga bayita mu bwegassi nti nebyenkulakulana babyesonyiwe.
Abawadde amagezi okwongera okweyambisa amaanyi g’ebibiina by`obwegassi, basobole okwongera omutindo ku mirimu gyebakola naddala eby’obulimi.
Omumyuka asooka owa Kayima akulembera essaza Mawokota Owek. Ssemalawa Patrick abazadde abasabye okugendanga n’abaana mu misomo gyebyenkulakulana, babanguke nga bakyali bato.
Ssegawa Hangington akulembedemu abalimisa ba Pamba akuutidde abalimi okwetegeka basobole okusimba Pamba mu budde okufuna amakungula agawera.
Abamu ku balima Pamba omwaka oguwedde bagambye nti bingi byebaaguyigiramu, era kati betegese bulungi okuddamu okulima ppamba eyegasa.
Omusomo guno gubaddemu abasomesa abenjawulo okuva mu CBS pewosa NGO nga bakulembeddwamu ssenkulu Luwedde Florence, n’omukwanaganya wa CBS n’abantu ba bulijjo Godfrey Male Busuulwa.
Bisakiddwa: Gerald Ddamulira