Office ya Supreme Mufti egenda kuddamu okunoonyereza ku bantu abazze batunda ettaka ly’obusiraamu mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Byogeddwa Ssentebe w’akakiiko akarwanirira ettaka ly’obusiraamu erye Sembabule era omuwandiisi wa Supreme Mufti, Sheik Siraje Mudde abadde ku Muzikiti gwa Masigidi Nuuru Katale Bukwenda ku luguudo Nnebalamye Mayanja.
Mu ngeri yeemu awanjagidde ekitongole ekiramuzi okulamula ensonga ezikwata ku kibba ttaka ly’obusiramu n’obwesimbu, abantu abenyigira mu vvulugu oyo bakangavvulwe.#