Abakozi abeera enguudo z’ekibuga Kampala, bagumbye ku kitebe kya KCCA mu Kampala, bagamba nti bawezezza ebbanga lya myezi 6 nga tebasasulwa.
Abasirikale ba police bayiiriddwa mu bungi ku kitebe, okubaziyiza okukolawo effujjo.
Abakozi bano bazze nga bamutte ebitiiyo, enjeyo n’ebipapula ebiwandiikiddwako ebigambo nti Twagala sente.
Kinajjukirwa nti ku ntandikwa y’omwaka guno 2024 ensonga z’emisaala z’abakozi bano zaalinnya enkandaggo nezituuka ne mu Parliament, era n’eragira KCCA esasule abakozi bano awatali kwekwasa nsonga yonna kyokka n’okutuusa kati abakozi bagamba nti tebasasulwanga.
Wabula Amyuka Ssenkulu w’ekibuga Kampala Engineer David Luyimbaazi Ssali agamba nti abakozi abeera ku nguudo obutasulwa, obuzibu buva kukulwawo okufuna ensimbi okuva mu ggwanika ly’e ggwanga, wabula agumizza abakozi nti ekitongole kikola ekyetagisa okusasula ababanja gonna.#