Abagoberezi ba Yezu Kristu bataambuzza ekkubo ly’omusaalaba, ng’akabonero okookujjukira n’okwefumiitiriza ku lugendo lweyayitamu okutuuka okumukomerera ku musaalaba e Kalivaaliyo.
Abakkiriza bakungaanidde ku masinzizo ne mu bifo ebyenjawulo gyebasimbudde okutambuza ekkubo, era nga ne mu bitundu ebimu waliwo abantu abewaddeyo okwetikka emisaalaba emizito n’okwetikka emige gy’amaggwa.
Ssaabasumba w’essaza ekkulu Kampala Bishop Paul Ssemogerere yakulembeddemu abavudde ku lutikko e Lubaga, ate omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira y’akulembedde abavudde ku lutikko ya paul e Namirembe.
Ku kisaawe kya Old Kampala wewatehekeddwa okusaba okwenjawulo okugatta abagoberezi ba kristu mu Uganda era webakungaanidde.#