Abatuuze ku kyalo Kyamuzinda mu gombolola ye Kyesiiga e Masaka baguddemu entiisa mutuuze munnabwe abadde agenze okutaasa abaagalana bwasaliddwako obusajja.
Agudde ku kibambulira ye Kibazzi Godfrey ng’abadde agenze okutaasa omusajja ategerekeseeko erya Mutagubya, nga kigambibwa nti abadde alwanagana ne mukyalawe.
Kibazzi Godfrey agambye nti ababadde balwana balirwana be, kwekusalawo okugenda okubataasa, wabula omusajja olutadde mukazi we n’abaka obusajja bwa Kibazzi abadde agenze okubataasa n’abusala
Mutagubya mu kiseera kino alyira ku nsiko.
Kibazzi awanjagidde police okuwenja omusajja amutuusizaako obuvune avunaanibwe mu mateeka wamu n’okumujjanjabisa.
Ssentebe w’ekyalo Kikonda ekiraanye ekyalo ewagudde obuzibu buno Ssalongo John, obuzibu abutadde ku bavubuka abasukiridde okukozesa ebiragalalagala, byagambye nti bibaggya mu mbeera nebakola ebintu ebitajja nsa.#
Bisakiddwa: Jjuuko Derick