Police ye Kyotera ebakanye neddimu ly’okuwenja ababbi abaalumbye kereziya ye Kamaggwa mu kigo kye Matale Kaliisizo nebakulita n’ensimbi eziwebwayo mu kibbo kya maama maria, wamu n’ebintu ebirala bingi.
Aba kristu mu kisomesa kye Lwamaggwa basazeewo okutegeka essaala eyenjawulo okuwanjagira omutonzi okukoma ku banyazi bano ababatadde ku bunkenke.
DPC we Kyotera Asan Musooba agambye nti wadde abakulira klezia baabadde tebawabye musango guno ku police, nti naye nga bbo aba police basazeewo okutwala obuvunaanyizibwa bwabwe baguseeko amaanyi nga bawenja ababbi bano abagufudde omugano okulumba amasinzo nebanyaga ebintu.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi