Abajaasi b’eggye ly’eggwanga 222 abali ku madaala agenjawulo bawummudde obuweereza, okubadde ba Colonel, Lieutenant Colonel ne major, olwa leero nga 12 August,2026
Muhoozi bano abasiimye olw’okwewayo n’omwoyo gw’eggwanga gweboolesezza ebbanga lyebamaze nga baweereza mu ggye lya UPDF.
Omukolo ogw’okubawummuza gubadde ku kitebe ky’amagye e Mbuya.
Omudduumizi w’amagye ga UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba asabye abasirikale ba abamuwudde okusigala n’empisa zebolesezza muggye, era nabatendereza olwetofaali eddene lyebatadde ku kusitula ekitiibwa n’emirimu gy’eggwanga.
Gen.Muboozi agambye nti empisa n’okwewayo byebimu ku biyambye abajjaasi bano okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obulungi, naagamba nti bakusigala nga babajjukira.
Ababuulidde nti wadde bawummudde naye bakyali baweereza ba ggwanga, era bajjakusigala nga bakola nabo okukuuma emirembe.
Col. Kajungu Rutiinampora nga yayogedde ku lw’abajjaasi abawumudde yebazizza abakulira amagye olw’okwongera okusitula eggye ly’eggwanga, nga kwotadde n’okukozesa technology ow’omulembe.
Waliwo olukalala lw’abajjaasi abalala abateekateeka okuwumula okuli naabali ku ddaala lya General 19, wabula olunaku lwebagenda okuwumulirako terunalangirirwa.#








