Ttiimu y’essaza Butambala eyongedde okutangaaza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere bwerumbye Kkooki omwayo n’egikubirayo goolo 1-0.
Omupiira guno guzanyiddwa mu kisaawe e Kyotera, era goolo ewadde Butambala obuwanguzi eteebeddwa Shaban Gyagenda.
Butambala kati eyongedde okwenywereza ku ntikko y’ekibinja Muganzirwazza n’obubonero 14 okuva mu mipiira 6, mu kiseera nga buli ssaza lisigaza omupiira gumu okuggalawo omutendera gw’ebibinja.
Bulemeezi ebyayo byongedde okwononeka mu mpaka zino, Kyaggwe egirumbye mu kisaawe kya Kasana Luweero n’egikubirayo goolo 1-0 eteebeddwa David Mugalu.
Kyaggwe nayo yenywereza ku ntikko y’ekibinja Masengere n’obubonero 13, ate Bulemeezi yesembye mu kibinja kino n’obubonero 04.
Gomba egudde maliri ne Busiro goolo 1-1 mu kisaawe e Kabulasoke.
Mawogola ekubye Kabula goolo 1-0 e Ssembabule.
Kyadondo egudde maliri ne Buvuma goolo 1-1 ku mupiira ogunyumidde e Wampeewo.
Bugerere ekubye Ssingo goolo 1-0.
Buweekula ekubye Buluuli goolo 1-0 e Mubende.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












