Police y’ebidduka ekakasasiza nti abantu 14 bebafiridde mu kabenje ate 28 nebakosebwa mu kabenje akagudde ku luguudo lwa Kampala Gulu Highway, mu kiro ekikeesezza nga 08 July,2026.
Akabenje kagudde mu kitundu ekimanyiddwa nga Bobi trading centre ku luguddo oluva e Kampala okudda e Gulu.
Okusinziira ku police y’ebidduka, Emmotoka bbiri okuli bus UBE 110H kika kya Isuzu eya kampuni ya Opti travellers ne n’endala lukulana No. KBS 564D/ ZE 7948 Mercedes Benz zitomereganye.
Omwogezi wa police y’ebidduka Micheal Kananura agamba nti omugoba wa bus yabadde agezaako okutaasa omuntu eyabadde asaala ekubbo bus kwekumulemerera ne tomeragaana ne lukululana.
Michael Kananura asabye abagoba b’ebidduka abakozesa enguudo okwewala okuvuga endiima, n’okuwa amateeka g’okunguudo ekitiibwa.#













