Ettendekero lya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education erisangibwa e Menga Kakeeko litongozza enteekateeka Nnamutaayiika ya myaka 5, nga mu myaka egyo basuubira okuyiingiza ensimbi eziwera obuwumbi 51 obwa shilling.
Ensimbi zino zisuubirwa okukozesebwa okununula ettaka ly’ettendekero eryasengebwako abantu, okuzimba ebizimbe ebirala ebisomerwamu n’ebisulibwamu abayizi, oktandikawo amasomo amalala agagasa abavubuka n’ebirala.
Nnamutayiika ono atandise 2026 okutuuka 2031.
Bw’abadde atongoza Nnamutaayiika ono ku mukolo ogubadde ku ttendekero lino e Mengo, Omumyuuka asooka owa katikkiro wa Buganda Owek Hajji Prof Twaha Kawaase Kigongo asabye amatendekero gÓbwakabaka okunyweeza omutindo gwÉbyenjigiriza, nga gasomesa abaana ba Buganda amasomo agatunda ku katale kÉnsi yonna mu kisaawe ky’ebyemirimu.
Mu ngeri yeemu Owe. Kawaase atongozza olukiiko oluggya oolwa Boodi y’ettendekero lino, nga lukulirwa Eng.Dr.Julius Mulumba, ng’azze mu bigere bya DR. Kasozi Mulindwa abadde ssentebe okumala emyaka 10.
Minister w’Ebyenjigiriza n’Ebyobulamu era nga yavunaanyizibwa ku yafeesi ya Nnaabagereka Owek Chotilda Nakate Kikomeko, asabye olukiiko oluggya okuteeka ennyo essira ku Masomo agagasa abayizi mu by’emirimu, ng’omu ku kaweefube w’okulwanyisa ebbula ly’Emirimu.

Ssenkulu wa Buganda Royal institute of Business and technical Institute Mengo Owek Joseph Balikuddembe Ssenkusu, agambye nti Olukiiko oluwummudde lukoze kinene okuluηamya entambuza y’emirimu ennuηηamu emyaka 10 egiyise, era nga bano bafudde ettendekero lya Ssabasajja ery’amaanyi mu matendekero agawa Obukugu obw’Emikono n’Obwongo , nga Ssaabasajja bwe yabalagira.
Boodi evuddeko eriko ebirabika bingi n’Ebitalabika byekoze nga bitwala Obwakabaka mu maaso,omubadde okuzimba ekizimbe kalina ekyatuumwa Kabaka Mulondo, Okusimba e Kibira e Mityana,okuzimba Omulyango oguyingira ettendekero ogw’Omulembe ,etaddewo ebifo omubangulirwa Abayizi mu Masomo agenjawulo eby’Omulembe, Okuteekawo amasomo agalina akatale, okugulira ettendekero Bus, okuluηηamya okwenjawulo n’ensonga endala nyingi.
Ssentebe wa Boodi omuwummuze Dr. Kasozi Mulindwa,agambye nti wannyukidde ng’ettendekero lya Kabaka likyasomoozebwa n’ekibba ttaka, Olw’abasatuusi abalemesezza ettendekero lino okugaziwa.
Ssentebe wa Boodi omuggya Dr. Eng Julius Mulumba akubye ebirayiro n’Olukiiko lwe lwonna, neyeebaza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okumulengera namusiima ,era yeeyamye okwongera okusitula omutindo gw’ebyenjigiriza mu Bwakabaka.
Eng. Dr.Julius Mulumba ayogedde ku bisuubirwa okukolebwa okuvaamu ensimbi eziyimirizaawo ettendekero, omuli okunyikiza okusimba Ebibira, n’okumalawo embeera yÓkweesigama ku nsimbi ezireetebwa bayizi.
Akakiiko kaliko ba mamba abalala okuli Prof.Umar Kakumba, Mukasa Stevens, Kasule Abubakali, Eng Jotham Ivan, Nalwooga Kasirye naabalala.
Bisakiddwa: Kato Denis












