Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ki Uganda National Examinations Board ( UNEB) kirabudde abakulira amasomero mu ggwanga olw’okuduumuula ebisale by’okuwandiisa abayizi okutuula ebibuuzo by’akamalirizo, bategeezezza nti buli eyeerimbika mu nteekateeka eno n’abba abazadde aba azzizza musango.
Bwabadde ayogerera mu lukuηηaana lwa bannamawulire ku Media Centre mu Kampla, Ssaabawandiisi wa UNEB Dan Odongo agambye nti etteeka erissaawo ekitongole kino, likirambika bulungi nti buli aduumuula ensimbi ng’azirimbise okubeera eza UNEB bwakwatibwa negumukka mu vvi aweesebwa engassi ya nsimbi obukadde ana (40m) okusibwa mu kkomera ebbanga eritasussa myaka 10 oba byombi.
Mu mbeera yeemu buli ssomero eriggya ensimbi ezisukka mu ezo ezigerekebwa UNEB aba alina okuziddiza abazadde, songa n’essomero luggyibwako olukusa lw’okutuuza abayizi ebigezo by’akamalirizo.
Etteeka era kirambikiddwa nti ssinga aba akoze ekyo abeera musomesa naye awanduukululwa mu busomesa.
Odongo asabye abazadde abaasabibwa ensimbi ezisukka mu ezo eziragiddwa UNEB bawaabire abaddukanya amasomero ago ku police ezibali okumpi bakangavvulwe.

Okuwandiisa abayizi abanaatuula ebigezo bya 2026, kwatandise mu April kukomekkerezebwa mu June, abanaasussa ekiseera ekyo nebayingira July bakusasula engassi ya bitundu 100% eri aba Primary, ate aba secondary bakusasula ebitundu 50% ey’omutemwa gw’ensimbi ezo ezigerekeddwa waggulu.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo












