Akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’obwa President aka State House Anti Corruption Unit katandise okuteeka ekiragiro kya President Museveni mu nkola eky’okunoonyereza ku vulugu agambibwa nti yetobeka mu kuddaabiriza camera za police, ne kampuni eyawebwa omulimu guno netuuka nobutafuna ssente zayo obuwumbi 31.37b wadde nga zaafulumizibwa.
President Museveni yawandiikidde akakiiko kano naakalagira okukola okunoonyereza ku bakungu mu ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga ne police, nti bandiba benyigira mu vulugu ono.
Mu bbaluwa ya President gyeyawandiika nga 23 May,2026 eri abadde akulira abakozi ba government Lucy Nakyobe, agamba nti yafuna alipoota okuva eri abadde minister w’ensonga zoomunda mu ggwanga Maj. Gen. Kahinda Otafiire nga yemulugunya ku bulyi bw’enguzi mu ministry, omuli n’endagaano y’okuddaabiriza camera za CCTV ezatekebwa ku nguudo.
President yalagidde omutessiteesi omukulu mu ministry y’ensonga zoomunda mu ggwanga Lt Gen. Joseph Musanyufu ne under secretary wa police Aggrey Wunyi saako AIGP wa police Felix Baryamwisaki okuddako ebbali okumala ebbaanga lya myezi 6 ng’okunonyereza ku mbeera eno kukolebwa.
President Museveni ategezeza nti oluvanyuma lwa kampuni ya Huawei, America ne European Union okugiteekako envumbo mu 2019, government ya Uganda yasalawo okukozesa Kampuni ya Uganda eya Dealan Associates Limited okuddaabiriza Camera za police ezirondoola obumenyi bw’amateeka.
Gen Museveni agambye nti ensimbi obuwumbi 31.37b bwafulumizibwa ministry y’ebyensimbi, kyokka nti eyaweebwa contract okukola omulimu ensimbi teyazifuna, nti olwabakungu mu ministry eno nga bakozesa bbulooka nga kati ye omubaka wa Bukomansimbi South, Hassan Mukiibi Sserunjogi okusaba enguzi ku ssente ezo.
President alagidde nti mubaka ono Hassan Sserunjogi anonyerezebweko era obujjulizi bwebumulumika avunaanibwe mu mbuga z’amateeka.
Alagidde nti ne Barbra Katisi owa kampuni ya Dealan Associates Limited aweebwe ssente obuwumbi 31.37 mu bwangu obw’ekitalo akole omulimu.
Wabula kigambibwa nti ministry ng’ekozesa bbulooka omubaka wa Bukomansimbi South Hassan Mukiibi Sserunjogi, kampuni ya Dealan Associates Limited yaweebwako obuwumbi bwa shs 28 nti wabula ebadde terina kyeyakolako ku by’okuddaabiriza camera.
Minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj.Gen.Kahinda Otafiire agambye nti ekiragiro kya president Museveni eky’okunoonyereza ku nsonga eno kyakuyamba okumanya ekituufu ekyaliwo, era nategeeza nti tarina kyasobola kuzoogera mu kiseera kino ku mawulire olw’ensonga nti mu ministry eno yaggyiddwayo.
Kahinda Otafiire yakwasiddwa ministry y’amazzi n’obutondebwensi.
Kinajukirwa nti President Museveni bweyali alayira okutandija ekisanja ekiggya 2026/2031, yakituuma Kisabja tewali kwebaka, tewali nguzi, era naawera okufafagana naabalyake n’abakenuzi.#












