Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya, wabula negumya bannauganda nti wadde gagenda kulinnya nti naye gagenda kubeerawo mu bungi.
Mu kiseera kino liita y’amafuta ga Petrol ebadde wakati wa shs 5790 – 7000 mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, ate aga Diesel gabadde wakati wa shs 5500 – 5690 okuva olutalo wakati wa Iran Israel ne America werwabalukawo nga 28 February,2026.
Omuteesteesi Omukulu owa Ministry y’amasanyalaze neby`obubugagga eby`omuttaka Eng. Irene Bateebe, asinzidde ku Ssengejjero ly’amawuliire erya Uganda Media Centre nategeeza nti amafuta gonna agali gagulibwa ng`olutalo olwo terunatandiika gaaweddewo, era nategeeeza nti amafuta amapya agagenda okutandika okukozebwa gaaguliddwa ng`olutalo lutandiise nga n’emiwendo gipaaluuse.
Asabye bannauganda okugumira embeera yamafuta agagenda okweyongera okulinnya, nti naye tebasaanye kutya nti gayinza okubula, kubanga galeeteddwa mu bungi wadde ku bbeeyi eyawaggulu.
Asuubizza nti government etadde essira kukunoonya amafuta ku bbeeyi eriko wansi okuva mu bitundu ebyenjawulo, okugaziya amakuumiro g’amafuta, n’okwanguyirizaako okumaliriza enteekateeka y’okufulumya amafuta ga Uganda.
Wabula Eng. Irene Bateebe asabye amasundiro g’amafuta obuteyambisa katubagiro kano okwongera okudumuula emiwendo kwebatundira, nti kubanga gaali gaalinnyisa dda emiwendo, n’ebbeeyi bweyali tenalinnya ku katale k’ensi yonna.
Eby’olutalo nga biri bityo, ne government ya Uganda yayongedde omusolo ku mafuta, gwa shs 200 ku buli liita, okutandika nga 01 July,2026.
Bisakiddwa: Musisi John













