Ministry y’ebyenguudo ng’eri wamu ne kampuni ezimba olutindo lwa Katonga ku luguudo lwa Kampala -Masaka eggadde ekitundu ku Katonga ,okusobozesa kampuni eno okumaliriza emisoso egisembayo mu nteekateeka y’okukola olutindo olwo.
Amyuka omwogezi wa ministry y’ebyentambula Allan ssempeebwa agambye nti kino kikoleddwa okubasobozesa okuyiwa kkolaasi mu kitundu ekyo, era ng’omulimu ogwo gugenda kutwala ennaku Ssatu.
Abagoba b’ebidduka abawadde amagezi okukozesa ku luguudo lwa mpigi -Gomba- sembabule Masaka mu kiseera kino, okwewala okutaataaganyazibwa n’okumala obudde obungi mu kalippagano k’ebidduka
Allan seempeebwa agambye nti mu bbanga lino, wagenda kubaawo okutaatagana mu byentambula mu kitundu ekyo, kwekusaba abagoba bebidduka nabasaabaaze okubeera abagumiikiriza.#












