Munnakibiina kya NUP John Marry Ssebuufu awangudde Obwa Sipiika bw`olukiiko lwa KCCA, ate ye Namazzi Olive Kagobula nga naye wa NUP naye naawangula eky’Obumyuuka bwa Sipiika.
Ssebuufu John Marry Owa NUP awangulidde ku bululu 18, ate ye Ssaalongo Kalule Ali atalina kibiina kweyajjira naye nga muwagizi wa NRM bwebabadde ennyo ku mbiranye, afunye obululu 16, nga akalulu kamu kekafudde.
Omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Ritah Neumbe Kidasa, yaamulangiridde, era naabakubisa ebirayiro.
Ssenkulu wa KCCA Hajjati Sharifa Buzeki yaayambazza Ssebuufu Omunagiro gw`obwa Sipiika wa KCCA, wamu n`okumukwasa byonna ebigendera ku buyinza obwo.
Mu mbeera yeemu Namazzi Olive Kagobula munnakibiina kya NUP naye awangudde obumyuka bwa Sipiika bwa KCCA afunye obululu 20, ate ye Kwarija Nicholas atalina kibiina kweyajidde naye nga muwagizi wa NRM afunye obululu 15.
Namazzi naye akubye ebirayiiro bye.
Bisakiddwa: Musisi John













