Alipoota efulumiziddwa akakiiko akalezi k’eddembe ly`obuntu aka Uganda Human Rights Commission, kalaze nti ebikolwa bingi ebityoboola eddembe ly’obuntu bikyagenda mu maaso mu ggwanga, ate nga bisiinga kwetabwamu abantu abalina obuyiinza n’obuvunaanyizibwa okubimalawo.
Alipoota eno ekwata ku by’obufuzi, obukulembeze, eby’obulamu, embeera z’abantu, technology n’ebirala.
Akalulu ka 2026
Akalulu ka bonna ak’ekisanja kya 2026-2031 kaakubwa mu January,2026.
Akalulu kaagenda okuggwa nga bannauganda abasoba mu 300 bali mu makomera omuli abaasibwa mu biseera bya kakuyege eeyatandika mu July 2025, saako naabasibwa mu biseera by’okulonda, nga n’okutuusa kati bangi bakyali mu makomera.
Akakiiko kano kafulumya alipoota buli mwaka ekwata ku ddembe ly’omwaka, ng’eno eyakasembayo okufuluma eya 2025 ya mulundi gwa 28.
Omukungu mu kakiiko kano aka Uganda Human Rights Commission, Hope Bagota, ategezeeza nti abantu abasoba mu 300 omwaka ogwayita 2025 bebaakwatiddwa mu misango egyekuusa ku by`obufuzi, ate nga waliwo naabatamanyiddwa muwendo baateeberezebwa okuba nga baafa.
Alipoota eno etegezezza nti olw’ebikolwa eby`okutyoboola eddembe ly’obuntu ebyeyolekera mu kalulu, kyaviirako bannauganda bangi okutya okulonda, nga kyenkana ebitundu 50% tebaalonda.
Alipoota eraze nti abantu abali mu bukadde 20 abewandiisa okulonda mu kalulu ka 2026, wabula abantu obukadde obuli mu 11 be bokka abaalonda.
Amyuka akulira ebikwekweto mu Police ya Uganda Okoshi Simon Peter, bwabuuziddwa ku bikolwa bya police ebityoboola eddembe ly’obuntu, ebyeyolekera mu kulonda kwa 2026, agambye nti bbo ng’abasirikale beemalira ku gwa kukuuma mirembe mu kalulu era nti baakikola bulungi, nti wabula abawagazi ne baabannabyabifuzi abamu bebaabasosonkerezanga.
Abantu 1,300 bebaawaba emisango mu kakiiko kano, nga bemulugunya olw’okutulugunyizibwa police.
Okunyigiriza ebitongole by’obwanakyewa
Alipoota eraze nti ebitongole by’obwannakyewa tebikyetaaya mu nkola y’emirimu gyabyo omuli okuleeta amateeka agagenderera okubikosa, omuli ery’okuwozesa abantu ku kooti z’amagye n’ebirala, okubiggyako licence, okukwata ababikulira n’ebirala.
Okusibwa essaawa ezisukka mu 48 nga tebatwaliddwa mu kooti
Alipoota eno eya Kakiiko ka Uganda Human Rights Commission, eraze nti ebikolwa eby`okusiba abantu nebatatwalibwa mu kooti mu bbanga lya ssaawa 48 bikyali bingi mu ggwanga.
Ate nebikolwa by`obutemu, okutwalira amateeka mu ngalo, ekibba ttaka, okukozesa ebiragalalagala, nebirala bingi byeyolekedde mu Alipoota eno.
Obulwadde bwa kkookolo
Alipoota ya Uganda Human Rights Commission eraze nti abantu abakwatibwa kkookolo beyongera buli olukya mu ggwanga, wabula nga tebasobola kutuusibwako buweereza busaanidde, omuli okukeberebwa okw’ekikugu, obujjanjabi n’ebirala naddala mu bitundu eby’ebyalo.
Buli mwaka abantu abasoba mu mitwalo 25,000 bebakwatibwa kkookolo naddala ow’omumwa gwa Nnabaana, ow’akatungulu mu basajja n’owekibumba.
Akolanga ssentebe wa Uganda Human Rights Commission LAmex Apitta Omara, agambye nti okukuuma eddembe ly’obuntu mu buli nsonga yonna ekwata ku bannauganda buvunaanyizibwa bwa buli muntu, naddala abo abavunaanyizibwa ku kukuuma bannauganda n’ebyabwe, awamu n’okubaweereza mu bwesimbu.
Bisakiddwa: Musisi John













