Ebitongole by’okwerinda bizzeemu okwaza amaka g’abadde sipiika wa parliament Annet Anitah Among agasangibwa e Nakasero mu Kampala, biboyeeyo emmotoka endala 3 ezibadde mu maka ago.
Emmotoka ebbiri eziboyeddwa zombi kika kya Toyota Land cruiser, nzirugavu mu langi, No. UA-630BE, No.UBH-138W saako eyokusatu kika kya Benzi nayo nga nzirugavu, ng’ennamba yaayo ya nnyukuta 3 zi AAA.
Police ng’ewereekeddwaako amagye emmotoka zombi bazitisse ku mmotoka Kasiringi nezitwalibwa ku kitebe kya police ekinoonyereza ku misango eky’e Naggulu.
Ziweze ennaku 5 ng’abebyokwerinda bali ku muyiggo n’okunoonyereza ku bigambibwa nti Annet Anitah Among abadde asusse okwegaggawaza w’abeeredde sipiika wa parliament ate nga yeejabaatira mu nsimbi ya muwi wa musolo.
Kaakano emmotoka za Anita Among ziweze 4 ezaakaboyebwa police mu bikwekweto ebigenda mu maaso, ng’ezaasooka okuboyebwa kwe kuli ekika kya Rolls Royce eyayogeza ensi obwama n’ekika kya Range Rover.
Ebitongole ebikuuuma ddembe bigamba nti okunoonyereza kuno kuluubiriddwamu kuzuula mazima ku bikolwa eby’obulabbayi n’obukenuzi ebigambibwa nti Among abadde abyenyigiramu.#













