Ekereziya Katolika esiibudde abamu ku balamazi abaavudde mu Democratic Republic of Congo abasoba mu 70, ababadde basoose okutuuka mu Uganda okwetaba mu bikujjuko by’olunaku lw’abajulizi nga 03 June e Namugongo.
President Yoweri Kaguta Museveniyalagidde abalamazi bonna ababadde bazze e Uganda okuddayo okwaboobwe, era neemikolo gy’olunaku lw’abajulizi egyomwaka guno 2026 nebyongezebwayo ku lunaku olutaayatuddwa, olw’ekirwadde kya Ebola ekyeriisa enkuundi mu DRC.
Wabula ekelzia yalagidde abakristu okukuliza olunaku luno ku parish zabwe ne ku diocease, sso ssi kulamaga Namugongo nga bwegubadde gubeera emyaka egiyise.
Essaza lye Kasese mu bugwanjuba bwa Uganda mu ekereziya Katolika, lyeryali lyaweebwa olukusa okuteekateeka ebikujjuko by’omwaka guno, era abalamazi abasinga obungi okuva e Congo ne mu bitundu ebirala mu ssaza lino, babadde baakusimbula olwaleero nga 19 May,2026 okutandika okutambula okwolekera Namugongo mu Wakiso district.
Wabula okusinziira ku babadde bateekateeka ebikujjuko bino mu ekereziya Katolika, olwokugondera ebiragiro bya government, abaavudde mu DRC babasiibudde okuddayo ewabwe.
Rev Fr Alex Kamanzi, okuva mu ttendekero lyabawereza mu kigo kye Ggaba ekya Ggaba Seminary nga yoomu ku babadde ku lukiiko oluteekateeka ebikujjuko ebyomwaka guno e Namugongo, agambye nti abalamazi abo basoose kukeberebwa nekikakasibwa nti kubabadde bazze tekubadde alina kirwadde kya Ebola.
Mu ngeri yeemu Centenary bank ewaddeyo obukadde bwa shs 138 okuyambako ku nteekateeka z’olunaku lw’abajulizi, wadde nga zaasaziddwamu.
Fr. Kamanzi abadde ne Rev Fr Francis Aquirinus Kibira Kambale okuva e Kasese, babadde ku kitebe Kya Centenary Bank ku Mapeera mu Kampala.
Rev Fr Alex Kamanzi, agambye nti wadde abalamazi badddiziddwayo, nti bingi ebibadde biwedde okukozesebwa mu kuteekateeka okukuza olunaku lw’abajulizi era nga birina okusasulwa,nti naye byonna babyesonyiye olwokutaasa obulamu bw’abantu.
Mukusooka Omusumba Kibira Kambale, asoose okwetaba mu kitambiro kyokuyimba mmisa n’abakozi ba bank ya Centenary, era wano waasinzidde naalangirira nti abalamazi bakusabira mu bitundu byabwe nga bwebasaabibwa government.
Asabye eggwanga okwongera okulwanyisa enguzi nabazadde okuweerera abaana abawala.
Akulira emirimu mu bank ya Centenary, Joseph Balikuddembe Kiwanuka, asinzidde wano naakakasa nti obuvujjirizi bwebawaddeyo obuweza obukadde 138, bawaddeyo obukadde 70 mu mpeke eri essaza lye Kaseese, n’obukadde 68 bwakuweebwa mu kuteekateeka ebintu ebyenjawulo ng’obulango, okutimba n’ebirala, era nti betegefu okukwasizaako nebitundu ebirala nga bwebanaaba balambikiddwa.
Uganda yaakazulibwamu abalwadde ba Ebola 2 nga baali bavudde mu DRC, omu akuumirwa mu ddwaliro e Mulago, ATE omulala yafa nga 14 May,2026.
Mu DRC abantu abasoba mu 130 bebaakafa ekirwadde kino, so ng’abalala abasoba mu 80 bapooca.












