Akabondo k’ababaka ba parliamnet abava mu Buganda balonze omubaka wa Buvuma munna NRM Robert Migadde Ndugwa okubeera ssentebe wabwe mu parliament eye 12, agenda kudda mu bigere bya Muhammad Muwanga Kivumbi eyali omubaka wa Butambala.
Migadde Ndugwa alondeddwa mu lukiiko olubadde olw’ebbugumu olutudde ku parliament nga lukubiriziddwa abadde omumyuka wa Ssentebe era abadde Omubaka wa Bukwe South Dr. Lulume Bayiga.
Omubaka akiikirira abakadde James Kakooza asoose kusaba ababaka obutakulembeza nsonga za bibiina byabwe, wabula batunuulire busobozi mu bantu abalondebwa .
Wabula kitegerekese nti wabaddewo okusika omuguwa ng’abamu ku bababaka babadde bagala okulonda kuno kwongezebweyo.
Omubaka wa Kasambya David Kabanda wano atadde Lulume ku nninga anyonyole enkola abadde egenda okugobererwa mu kulonda abakulembeze mu kabonda kano, nekizuulwa nga tewabadde nsonga ebagaana kugenda mu maaso na kulonda.
Wano Ssentebe Lulume Bayiga alagidde ababaka ba NRM n’abaali ku ludda oluvuganya buli oludda okwevumba akafubo okubaako byebakaanyako n’okusalawo ebifo byebagala..
Oluvanyuma lw’akafubo NRM esabye ebifo mukaaga n’ ludda oluvuganya nerukkiriza okutwala ebifo bitaano ,era nebalonda omubaka wa Buvuma Robert Migadde nga Ssentebe, amyukibwa munna Nup Denis Ssekabira owa Katikamu North .
Omubaka wa Busujju David Kalwanga ye muwandiisi, Cissy Namujju omubaka omukyala owa Lwengo muwanika, Omubaka wa Mityana North Kibedi Nsegumire ye w’amawulire, Zambaali Bulasio Mukasa owa Nansana Municipality avunanyizibwa ku kunga , omubaka wa Mawogola North ,Sodo Aine Kaguta yavunanyizibwa ku nsonga ze bitundu bye bweru wa Buganda.
Omubaka omukyala owe Nakaseke Sarah Najjuma alondeddwa ng’obuwangwa saako omukyala owe Kayunga, Harriet Nakwedde yatwala eby’embeera z’ababaka .
Bbo bamemba abalala mu kabondo ka babaka ba Buganda aboogeddeko naffe okuli omubaka omukyala owe Bukomansimbi Ruth Katushabe, Teddy Nambooze owa Mpigi Betty Ethel Naluyima owa Wakiso nomubaka wa Bukomansimbi north Kisekka Salim bawanjagidde abalondeddwa okwewala enjawukana z’ebyobufuzi bamanye ebigendererwa by’akabondo.
Bisakiddwa: Nabagereka Edithie ne Ssebuliba Julius












