Ekeleziya Katolika mu Uganda erangiridde nti olunaku lw’abajulizi omwaka guno 2026, abakkiriza bakulukwatira ku bigo ne mu masaza gabwe.
Olunaku lw’abajulizi ba Uganda lukuzibwa buli nga 03 June, ku biggwa by’abajulizi e Nnamugongo.
Wabula ku mulundi guno omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalangiridde nti ssirwakubaawo mu kiseera kino, olw’okwerinda ekirwadde kya Ebola, ekyabaluseewo mu Democratic Republic of Congo abantu abasoba mu 80 bebaakattibwa ekirwadde mu wiiki 2.
Waliwo omuntu omu mu Uganda eyakakasiddwa nti yafudde kirwadde kye kimu ekiyitibwa Bundibugyo Ebola.
Ssentebe w’olukiiko lw’Abepisikoopi mu Uganda era Omusumba wa Kiyinda Mityana Dr. Anthony Zziwa asinzidde Nsambya nategeeza nti abakristu bakujjira olunaku lw’Abajulizi nga 3 June,2026 nga basinziira mu masaza gabwe, wabula bakuluηamizibwa abepisikoopi awamu naabakwatibwako ensonga z’ebyobulamu.
Mungeri yeemu omusumba Anthony Zziwa asabye abakkiriza okusigala nga bakkakamu nga bwebalinda ekiddako era benyigire mu kulwanyisa ekirwadde kya Ebola.
Enteekateeka y’omwaka guno 2026 ebeera ekyusemu ku za bulijjo, abakkiriza munzikiriza ya y’Abakatoliki n’Abakristaayo nga balamaga ku biggwa by’Abajulirizi Namugongo, okubajjukira olw’okufiriira Eddini.
Abantu balamaga okuva mu bitundu bya Uganda yonna ne mu mawanga agatali gamu okwetaba mu bikujjuko bino, era nga waliwo naababadde baatandika edda okutambuza ebigere okwolekera Namugongo, bano omukulembeze w’eggwanga yalagidde bakyuse baddeyo gyebaavudde.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius











