Anita Annet Among mu bubaka bwayisizza ku kibanja kye ekya X, agambye nti oluvannyuma lw’okwebuuza n’okunyweza obumu mu kibiina ki NRM asazeewo eby’okuvuganya ku kifo kya sipiika wa parliament abyesoonyiwe.
Anita Annet Among bwatyo yeebazizza president wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni olw’okumuwa omukisa okuweereza ng’omumyuka wa sipiika, ate era naafuuka ne sipiika wa parliament.
Anita Among yeyamye okuwagira omubaka ekibiina ki NRM gwekinaawandako eddusu ku kifo ky’obwasipiika n’omumyuuka wa sipiika ,bwaatyo era awanjagidde babaka banne bawagire abantu abanaasembebwa ekibiina.
Among yeyamye eri mukamawe era omukulembeze w’eggwanga nti mwetegefu okuweereza mu kifo kyonna kyanaaba amuwadde okuweereza mu government.
Among okulangirira kino, kijjidde mu kiseera ng’ebitongole by’ebyokwerinda okuli amaggye, police bigenda mu maaso n’okwaza amakaage agawerako okuli ag’e Nakasero, Buyende, Bukedea, Kigulu, Ntinda n’ewalala, nga binoonyereza ku bigambibwa sipiika Among abadde yenyigira mu bulyake, okwegaggawaza n’okukukusa ensimbi.
Kigambibwa nti mu kiseera kino sipiika Annet Anitah Among yaggalibwa mu Makaage e Nakasero, takkirizibwa kufuluma.
Mu bubaka bwe Among yeyamye okukolagana n’ebitongole by’ebyokwerinda mu kunooonyereza kuno.
Kinnajjukirwa nti mu nsisinkano omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa gyeyatuuza mu maka g’obwa president eyetabwamu Anita Among yennyini,bannaddiini, eyaliko sipiika wa parliament Rebecca Alitwaala Kadaga nabalala, Museveni yalagira Anita Among yesoonyiwe ebyokuvuganya ku bwa sipiika bwa parliament eye 12.
Kigambibwa nti wabula oluvanyuma lw’ensisinkano eno, ababaka abawagizi ba Among baagenda mu maaso n’okumukuyegera obuwagizi.
Ensonda era zizze zitegeeza nti Anita Among yalina n’ekirowoozo eky’okwesimbawo ku ntebe ennene ey’obwa president emyaka egijja, wabula yavaayo nakyegaana nti ye tafunangako kirowoozo ekyo.
Omwogezi w’ekitebe Kya NRM Emmanuel Ddombo agambye nti olukiiko lwa CEC ya NRM nakabondo k’ababaka bannaNRM kakutuula, okumaliriza ensonga ya sipiika wa parliament.
Bino byonna bigenda mu maaso ebyokusika omuguwa ku kifo Kya sipiika, ekisinde kya Patriotic League of Uganda PLU ekikulemberwa mutabani w’omukulembeze w’eggwanga era omudduumizi w’amaggye Gen.Muhoozi Kainerugaba ,kaawanze eddusu ku Mubaka wa West Budama North Jacob Oboth Oboth ku kifo kyobwa sipiika wa parliament.
Emmanuel Dombo bwabuuziddwa oba Kati obuyinza obusalawo ku nsonga enkulu mu ggwanga buli wansi wa PLU, agambye nti Nrm ne PLU bitambulira wamu ku nsonga ez’enjawulo.#













