President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa alonze omulamuzi wa kkooti ejjulirwamu Justice Moses Kawumi Kazibwe, okufuuka omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga omuggya.
Ekifo kino kibadde kikalu okuva mu January w’omwaka guno 2026, president bweyalonda eyali omumyuka wa Ssaalabamuzi ekiseera ekyo Dr. Flavian Nzeija, naamufuula Ssaabalamuzi w’eggwanga
Okulondeddwa kw’omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe okufuuka Omumyuuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga, kye kifo President Museveni kyasoose okulonderamu omukulu nga wakayita Olunaku lumu lwokka ng’amaze okulayizibwa ng’Omukulembeze w’eggwanga ku kisanja eky’omusanvu eky’akalulu.
Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe omulimu gw’obulamuzi agumazeemu emyaka egiwera ng’ aweereza mu kkooti eziwerako, nga yaliko omulamuzi omukulu owa kkooti e Mubende nga resident Judge.
Omukulembeze w’eggwanga era alonze omulamuzi Agnes Alum nga registrar wa kooti omukulu.
Registrar wa kooti oba omuwandiisi wa kkooti omukulu, yabeera akulira ba registrar ba kooti zonna mu ggwanga era alondoola empeereza z’emirimu gya kooti.
Ekiwandiiko ekivudde mu maka gobwa president kinyonyodde nti amannya g’abakulu abo ababiri, omumyuuka wa Ssaabalamuzi omuggya Moses Kawumi Kazibwe ne register wa kkooti omukulu Agnes Alum gawerezeddwa mu parliament okubakubamu ttooki okulaba oba nga basaanidde
Okulondebwa kwabakulu bano, kujjidde mu kiseera ng’ababaka ba parliament eye 12 balayizibwa okutandiika emirimu gyayo, wabula nga ne parliament eye 11 tenasiibulwa mu butongole.
Mu kiseera kino tekimanyiddwa parliament egenda okusunsula amannya gabakulu abo eye 11 oba eye 12.
Bisakiddwa: Betty Zziwa












