Ababaka abagenda okukiika mu parliament ey’omulundi ogwe 12, batandise okukuba ebirayiro nga olwa leero nga 13 May,2026.
Ebirayiro babikubira ku maddaala agayingira munda mu parliament.
Ababaka bano baalondebwa mu kalulu ka bonna akaakubwa nga 15 January,2026. Era nga bebekisanja ekya 2026-2031.
Ssemateeka w’eggwanga ennyingo eye 81(1) ekakata ku buli muntu alondeddwa okubeera omubaka wa parliament okusooka okukuba ebirayiro 2, nga tanabaako mirimu gyonna gyakola ng’omubaka wa parliament.
Ababaka bano bakuba ebirayiro bibiri okuli eky’okweyama okuweereza eggwanga ekya oath of allegiance, n’ekirala ekyokutuukiriza emirimu gy’omubaka wa parliament.
Amateeka agaluηamya entambuza y’emirimu mu parliament gakugira omuntu yenna atakubye birayiro ebyo okutuula mu parliament okukola emirimu ng’omubaka wa parliament.
Okulayiza ababaka kuno, kwesigamiziddwa ku nsengeka y’amannya g’ababaka abalonde okuva ku A – Z, era bakulayira mu mpalo nga bweyalambikibwa kalaani wa parliament Adolf Mwesigye.
Okulayiza ababaka abalonde abawerera ddala 529 kwakumala ennaku 3, kukomekereza ku Friday nga 15 May,2026.
Omubaka we Kabula Asiimwe Enos yagguddewo okulayira kuno, ate omubaka omukyala owa district ye Nakasongola Zawedde Victoria yagya okuggalawo okulayira kw’ababaka ba parliament eye 12.
Wabula ababaka bano batandiise okulayizibwa mu kiseera nga parliament eye 12 tenaggalawo mirimu gyayo mu butongole.
Embeera eno ereeseewo akatuubagiro, olwa parliament y’eggwanga okubeera n’abakaka ba mirundi ebiri, okuli aba parliament eye 11 n’aba parliament ey’omulundi ogwe 12.#











