Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kitanzizza club ya Express FC mukwano gw’abangi ensimbi akakadde ka shs kamu, olw’okulemererwa okubeera ne Ambulance ennamu ku kisaawe bwe baali bazannya ne club ya NEC mu Uganda Premier League.
Omupiira guno gwazannyibwa nga 21 April,2026 mu kisaawe e Nakivubo, omuzannyi wa Express Richard Bbasangwa naafuna obuzibu nga yetaagisa ambulance okumuddusa mu ddwaliro, kyokka Ambulance yali nfu era emmotoka ey’obwanannyini ye yamuddusa mu ddwaliro.
Olw’okubeera ne Ambulance enfu ku kisaawe, kati FUFA eragidde Express okusasula engasi ya kakadde kamu mu nnaku 14 zokka, n’okujirabula obutaddayo kulagajjalira mbeera yonna eyekuusa ku by’obulamu ku kisaawe.
Mu mupiira guno ttiimu zonna zalemagana 0-0.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe








