Omulamuzi Adams Byarugaba owa kooti ento eya Mwanga II esangibwa e Mengo, aliko abasomesa 7 baasindise mu kkomera baggalirwe okumala omwaka mulamba, lwakwenyigira mu kubba ebigezo by’abayizi ebyakolebwa omwaka ogwayita 2025.
Kigambibwa mu November,2025 abasomesa bano beenyigira mu kubbirira ebibuuzo bya Primary Leaving Examinations, (PLE), ebyatulibwa abayizi mu 2025, era nti omusango guno baaguddiza mu district ye Kassanda.
Abasindikiddwa mu nkomyo baleetedde omuwendo gwabo abaakaggalirwa ku nsonga y’ebibuuzo okulinnya okutuuka ku bantu 15, kwabo 30 abakwatibwa ku nsonga zeezimu mu district ye Kassanda.
Omuaango guno era guliko ne director wessomero lya Nkoba Primary School agambibwa okwekobaana naakulira ebyokulondoola amasomero ku district ye Kassanda, nti nebasala ekiveera n’ekibokisi omuterekebwa ebibuuzo nebabikuba ebifaananyi nebatandika okubigabanya abasomesa abalala nga bwebabasaba ensimbi, okubawa akasasi.
Okusinziira ku tteeka lya UNEB eppya kino tekirizibwa, ate baakikola nga n’obudde bw’ebibuuzo tebunatuuka era ssinga gukukka muvvi osibibwa oba nootanzibwa ensimbi oba ebibonerezo byombiriri.












