Police ekutte Okello Christopher Onyum agambibwa okutemateema abaana ku ssomero lya Ggaba Early Childhood program school, 4 abattiddewo omu asigadde n’ebisago.

Omutemu ono asoose mu woofiisi y’abakulira essomero neyefuula asabira omwana ekifo, wabula abadde afuluma esomero naasanga abaana nga bali ku byesuubo bazannya kwekuggyayo ejjambiya babatemaatema.
Abaana 4 battiddewo kuliko Eteku Gideon wa myaka 2, Kaise Erungat 2,
Ignatius Sseruyange 3 ne
Ryan Odeke 2.
Abasomesa bakubye enduulu esoombodde abatuuze mu kitundu, era abatuuze bebakutte omutemu ng’adduka nebatandiika okumukuba emiggo.
Mu mbeera eno police ebadde eyagala okutwala omutemu ,abatuuze nebaziba enguudo nebakumamu omuliro, nga bagamba tebalina gyebamutwala.
Police ekubye amasasi mu bbanga okugumbulula abantu nebalemerawo okutuusa bwebayise amagye agakkakanyizza embeera.
Ssentebe w’ekyalo kino ekyegaba Gabudyeeri Musisi agambye nti obunkenke bw’amanyi ddala olw’entiisa eno egudde mu kitundu.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Racheal Kawala agambye nti omusajja ono Okello Christopher Onyum tanabaako kyayogera ku kimuviiriddeko okutta amabujje gano.#












