Banakyewa aba Islamic Relief- Netherlands nga bayita mubannamikago babwe aba Hear Uganda,badduukiridde abantu abenjawulo mu district ye Bukomansimbi, nebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.
Ebintu ebiweereddwayo kuliko emifaliso, essuuka, bbulangiti,obutimba bw’ensiri n’ebirala.
Abatuuze okubadde bannamwandu, abakadde, bamulekwa nabaliko obulemu bebamu kubafunye ebintu ebyo.
Basabye ebitongole ebirala okugenda mu byalo kuba obwetaavu gyebuli bungi.
Kamuli Joseph ssentebe w’egombolola Kitanda yebazizza bannakyewa abadduukiridde abatuuze, nagamba nti abantu bangi basula bubi ekibaviirako okufuna endwadde. #
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior










