Ekitongole ki Mulasa Foundation kibakanye ne Kawefube wokutumbula ebyenjigiriza e Mityana, nga kiyambako okuwa abaana ebikozesebwa ku masomero kitandikidde Kitinkokola.
Ekitongole kino ekitandikiddwawo Mulasa Musiitwa.
Musala asuubizza nti ekitongole era kyakukwasizaako n’abakyala saako abaana abalenzi abali mu mirimu egyenjawulo, okubayigiriza emirimu gy’emikono n’ebirala.

Mu ngeri yeemu Mulasa Foundation etandise okusonda ensimbi ez’okumaliriza ekkanisa ya St. Dunstan Church ku kyalo Kitinkokola mu district ye Mityana.
Bisakiddwa: Samson Kisekka











