Police mu Kampala n’emiriraano ezudde emuddu egambibwa okubbibwa mu bulumbaganyi obwakolebwa ku ssundiro ly’a mafuta erya Stabex erisangibwa e Namakonkome Matugga ku luguudo lw’e Bombo mu district ye Wakiso.
Ng’ennaku z’omwezi 09 March,2026 waliwo abaalumba esundiro luno era nebanyaga ebintu okwali nokujja ku mukuumi eyaliwo emuddu ne badduka nayo, era camera ezikwata ebifaananyi eziri kusundiro lino zalaga ebyaliwo byonna.
Okusinziira ku police, waliwo omutuuze mu kitundu kino alabye ekintu mu nnimiro ye nga alima natemya kubakulembeze abagenze okusanga nga muddu era ne bategeeza police esitukiddemu negiggyayo.
Omwogezi wa police mu Kampala ne mirirano Racheal Kawala asinzidde mulukuηηaana lwa banamawulire ku kitebe kya police e Naguru nagamba nti omuyiggo ku bazigu abaali mu bulumbaganyi buno ku kyagenda maaso, okutuusa nga babagudde mubuufu, era yebazizza abatuuze abateemezza ku police oluvanyuma lwokulaba emuddu eno.
Mungeri yemu police ye Katwemu Kampala ekutte abantu 3 abagambibwa okulabikira mu katambi nga baliiko omuntu gwebakuba saako okumunyagako ebintu bye.
Abakwatiddwa ye Ssali Ethan, Ssali Isaac ne Ssenyoga Isaac nga bakumibwa mu kaddukulu ka police,nga bweyongera okunoonyereza ku banyazi bano.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Rachael Kawala agambye nti bano bagenda kubayamba okubatuusa ku banabwe abalala bebakolagana nabo okunyaga bannauganda.#












